TOP

Zari ne MC Kats balina waaka

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

KU Ssande lwabadde lunaku lwa bamaama kyokka wabadde oyinza okulowooza nti abantu baabadde ku mpaka z’ani asinga maama omulungi oba ow’obuvunaanyizibwa n’abamu okuwaana bakyala baabwe okubazaalira abaana abalungi.

Tuuka 703x422

Ku mikutu gya ‘social media’ obwedda buli muntu ateekayo ekifaananyi kya maama oba mukyala we n’okubiwereekereza ebigambo ebibawaana n’okubasuuta nga bwe bali abazira.

Mu bano mwabaddemu Zari Hassani eyataddeyo ekifaananyi ng’ali n’abaana be abataano okuli ab’omugenzi Ivan Ssemwanga basatu n’ab’omuyimbi Diamond Platnumz.

Ono kirabika yayagadde kulaga nti mukyala wa buvunaanyizibwa asobola okulabirira ezadde lye mu kusoomoozebwa kwayitamu.

Abalala gye baabadde batendereza bamaama baabwe, ye MC Kats (Edwin Katumba) agamba ye muzira eri abaana be. Ono naye yataddeyo ekifaananyi ng’ali n’abaana be bonna abataano.

Yagambye nti kitera okuba ekizibu omusajja azadde abaana mu bakazi ab’enjawulo okubakung’aanya n’abeerako nabo ku lunaku lumu. Obwedda abantu babawaana okuba ne waaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...