TOP

Mmotoka ya Miss Curvy bagiwambye lwa bbanja

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

EBINTU bya mpuna! Mmotoka eyassibwawo ng’ekirabo ky’omuwanguzi w’empaka z’abakazi aboobubina n’amakudde (Miss Curvy) eyagiguza abategesi agiremedde lwa bbanja lya bukadde 16.

Unity 703x422

Nansasi ku mmotoka gye baamuwambyeko.

Mmotoka eno ekika kya Jeep Cherokee eyawangulwa Belinda Nansasi ow’e Ntebe yeetabudde Hamidu Kamanzi omusuubuzi w’emmotoka mu Ndeeba n’abategesi b’empaka za ‘Miss Curvy’ olw’okulemererwa okumusasula ssente ze.

Mmotoka eno nnamba UAL 810Y ekuumirwa mu kikomera ekimu e Mutundwe, Kamanzi gye yagitadde.

Yagambye nti aba Miss Curvy baakolagana ne Matia Tamale (bbulooka w’emmotoka) kyokka n’okutuusa kati balemereddwa okumuwa ssente ze.

Agamba nti mu ndagaano gye baakola nga April 25, 2019 bakkiriziganya okusooka okusasulako ssente ebitundu 60 ku 100 ku bukadde 16 ku lunaku empaka lwe zaaliwo (April 26) kyokka n’okutuusa kati tebakituukirizanga era agezezzaako okubakubira amasimu bamuwe ssente ze kyokka bamubuzaabuza nga n’olumu bamujuliza Minisita Godfrey Kiwanda Ssuubi.

Kamanzi agamba nti ng’oggyeko ssente z’abanja ayagala bamuliyirire olw’okumenya endagaano n’okwonoona mmotoka ye kubanga baagisibako ebipande ebiranga empaka zino.

Annie Mungoma omutegesi w’empaka zino bwe yatuukiriddwa yasoose kutegeeza nga bwe kitali kituufu nti emmotoka yabalema okusasula.

Agamba nti erina ekizibu kye baagizuulako nga bamaze okugifuna kwe kugiddiza Kamanzi asooke agitereeze n’oluvannyuma egibawe.

Kyokka Mung’oma bwe yabuuziddwa ekizibu mmotoka ky’erina ate n’alya ebigambo bye ng’agamba tayagala kwogera ku nsonga za mmotoka eno mu mawulire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...