TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Omuyimbi Geosteaday n'amulumiriza okumuzaalamu babagyeeko omusaayi

Omuyimbi Geosteaday n'amulumiriza okumuzaalamu babagyeeko omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

OMUYIMBI Geosteady agasimbaganye n’omuwala, Norine Nalubega amulumiriza okumuzaalamu omwana n’atamulabirira ne beeyokya ebibuuzo omuwala n’amusongamu n’agamba nti, ‘Y’ ono gwe nazaalamu omwana lwakuba luli yali mutono kati agezze.’

Geosteady 703x422

Geosteady ng’ali ne Nalubega alaze omwana.

Olwo baabadde ku poliisi y’e Katwe eggulo nga bagasimbaganye ne poliisi ekola ku nsonga z’amaka.

Goesteady ye yasoose okugenda ku Ndikuttamadda ku ky’e Busaabala, Nalubega gy’abeera n’omwana omulenzi ow’omwaka ogumu n’asimba mmotoka ye mu lugya ng’ali n’abapoliisi ng’ayagala alabe ku muwala gw’agamba nti tamulabangako, yeekanga amusibako omwana nti ye yamumuzaalamu bwe baasisinkana ku bbaala ya Nyondo ku lw’e Ntebe.

Wabula abatuuze baaleekaanye nga balangira omuyimbi oyo okuzaala omwana n’atamulabirira ekyamuwalirizza okudduka n’agenda ku poliisi omuwala gye yamusanze ne babituulamu.

Baagenze ne poliisi ku ddwaaliro lya MBN e Nakasero ne bamuggyako omusaayi n’omwana okulaba oba y’amuzaala era ng’ebinaavaamu birindiddwa mu wiiki emu okuva kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera