TOP

Ho.. leero batulina...!

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2019

Ho.. leero batulina...!

Kab2 703x422

FRED Batte ne munywanyi we eyategeerekeseeko erya Henry embeera ebaddugalidde. Babakutte ne babanyiga ebitooliro. Obwedda babakunguzza bamagamaga si kulwa nga waliwo ababamanyi ne basaasaanya olugambo.

Kigambibwa nti abasajja bano baludde nga beenyigira mu bikolwa by’obubbi omuli okusala ensawo n’okusumulula obutaala ku mmotoka z’abantu.

Emirimu gyabwe babadde bagikolera ku mikolo ng’embaga, okuziika abantu ab’amannya n’okusaba mu Klezia oba kkanisa ez’amaanyi era ku luno baabakwatidde Namirembe. Baabadde ku mukolo gw’okusabira omwoyo gw’eyali minisita wa gavumenti ya Ssaabasajja, Musisi Bagunywa.

Engeri abantu gye baabadde abangi n’abakuumi baabadde bulindaala. Okusaba bwe kwawedde ng’abantu bafuluma, abakulu bano ne batandika okukolera mu nsawo z’abakungubazi.

Waliwo abaabalabye ne batemya ku poliisi ne babakwata ne babawanika empale. Baabadde bambadde mu ngeri y’obuvunaanyizibwa nga basibye n’ebikalu. Wabula beewozezzaako nti si babbi nabo baabadde bagenze kusabira mugenzi abantu ne babayita ababbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke

Lab2 220x290

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi...

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

Jip2 220x290

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa...

Oluvudde e Luzira n’addamu Sitalinyebwa ne Mugalu ku okubba

Mo2 220x290

Aba poliisi 300 babanguddwa

Aba poliisi 300 babanguddwa

Jo2 220x290

Bugingo ayitiddwa mu kakiiko yeewozeeko...

Bugingo ayitiddwa mu kakiiko yeewozeeko