TOP

Grace Khan alangidde Luzinda obwerabize

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2019

OMUYIMBI Grace Khan owa Da Nu Eagles bamuwonyezza akatebe. Afunye Kojja Kitonsa akola nga maneja we era amuteekamu ssente.

Sing 703x422

Grace Khan ebintu oluteredde n’akuba oluyimba lw’atuumye ‘‘Wakyuka’’ ng’alangira omulenzi we eyamukyawa okuba omwerabize n’obutajjukira gye baatandikira kubanga baali bubi.

Ayongerako n’agamba nti oba kale laavu yaggwaawo ekyo si kikulu naye basigale nga bamukwano ne yeewuunya abantu abamulimbalimba kubanga teyali bwatyo.

Bbo ababisomera mu bbaasa baatandikiddewo okubityebeka nti omuwala ono yandiba ng’alangira muyimbi munne Jovan Luzinda bwe bayimba bonna mu Da Nu Eagles.

Batugambye nti abantu bano baaliko ab’omukwano ng’omu kaaliddeko n’omulala kalyako nga n’oluusi Grace Khan amanyi okukuba ekikonde ng’asanze omuwala amuzannyirako.

Batugambye nti ne Jovan Luzinda bwe yabadde ku kitanda, Grace Khan y’omu ku baamuyambye okusasula ssente z’eddwaaliro kyokka n’atasiima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...