TOP

Kamoga atongozza hakki eyookuna

Added 22nd May 2019

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Kamoga ne Zanie baawooweddwa ku mukolo ogw'ekyama ogwabadde e Kajjansi ku Lwomukaaga nga gwetabiddwako abantu batono.

Owoolugambo waffe atugambye nti wadde bano baakawoowebwa, bamaze emyaka egisukka mu musanvu nga baagalana ng'era laavu yaabwe ya kyama.

Omu ku mikwano gya Kamoga yategeezezza nti Zanei ali lubuto nga kirabika y'ensonga lwaki baasazeewo okutongoza omukwano gwabwe.

Omuwala ono ava mu famire y'abagagga Godfrey Kirumira ne Moses Kalungi.

Ono amugasse ku hakki ze endala ezimanyiddwa okuli: Aminah Najjemba gwe yakuba embaga mu 2016 ne Wasilah (abamu gwe babadde bayita mukyala muto) eyamuzaalidde omwana gye buvuddeko.

Ate ye Zam Kamoga abamu gwe baali bayita mukyala mukulu kigambibwa yatambulamu.

Wadde ng'abantu obwedda bamwogerako ng'asibye ffaamu y'abakyala, abalala obwedda bamukooneramu nga bagamba ali ku mateeka ga Busiraamu agalagira okuwasa abakyala bana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono