TOP

Mesach ekivvulu kimuwuuba

Added 27th May 2019

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya okumubuuza ku bya tiketi z’ekivvulu kye ‘‘Bw’agamba Experience My Journey Episode 2’’ omusanga Makindye ku Papaz Spot.

Omanyi Mesach okuva lwe yatandika okukuba omuziki emyaka nga 20 emabega azze akola ebintu eby'enjawulo mwanaakung'aanya fi izi z'abaana ng'omuziki tegukyatambula bulungi.

Ku Lwokutaano twamusanze ku Papaz Spot e Makindye ng'agabula bakasitoma be emmere.

Bwe twamubuuzizza lwaki tateekako bakozi n'agamba nti weebali naye emirimu gy'ennaku zino okugifunamu naawe olina okwenyigiramu.

Yagambye nti bw'amala okuweereza bakasitoma be ng'adda mu kuwawula ddoboozi atuuke ku lunaku lwa June 14, 2019 nga temuli wadde akafuufu.

Ekivvulu kino ekitegekeddwa Musa Kavuma owa KT Events ne kiwagirwa Vision Group kigenda kubeera ku Hotel Africana.

Ku Lwomukaaga nga June 15, ali ku Colline Hotel e Mukono ate ku Ssande nga June 16, abeere e Luweero mu kisaawe. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono