TOP

Olutalo lwa Sheebah ne Cindy lukyalanda

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd June 2019

ABAYIMBI Sheebah Karungi (ku ddyo) ne Cindy Ssanyu bavudde mu lutalo lw’ebigambo kati baluzizza mu muziki. Sheebah aleese “Jealousy”ekitegeeza “obuggya” ate Cindy n’afulumya “Copy Cat”.

Battlesheebahvscindymin 703x422

Sheebah ne Cidy baludde nga balina obutakkaanya nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba omuziki nga n’olumu Cindy yali ayagala bagende mu kabbinkano k’omuziki giyite ‘‘battle’’ buli omu alage kyalinawo.

Mu luyimba luno Cindy agamba nti abantu abamu balowooza nti ebintu byangu nga guno bagulabanga omuzannyo ne yeebuuza oba bali ku ki? Tebakimanyi nti nze ndi Origino? ng’olwo alumba Sheebah.

Ne Sheebah yafulumizza ‘‘Jealousy’’ nga yeewuunya lwaki abantu abamu balowooza nti babamanyi nnyo lwakuba bamaze emyaka 10 nga babalaba ku ttivvi era ekyo tekitegeeza nti omuntu omumanyi nnyo.

Agamba nti kyangu okulaba omuntu ng’ali ku siteegi kyokka nga tomanyi kyazze ayitamu okufuuka ekyo ky’olaba ng’asanyusa abantu n’olowooza nti naawe bw’okikola okisobola.

Waliwo abagamba nti kituufu abantu bano tebeematira ng’ate abalala bagamba nti kirabika bali ku buzannyo bwabwe kutundirako nnyimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...