TOP

Judith Heard ayingizzaawo wolole omupya?

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2019

Omuvubuka ono obwedda ayogeza abantu obwama yategeerekeseeko erya Brian era abasinga bamumanyi nga muyambi w’omuyimbiAngela Katatumba gw’abadde atera okukwatira ensawo.

Heard1 703x422

Judith Heard

NGA bw’eri enkola ya basereebu okufunayo abayambi abakola guno na guli bayite bawolole, ne mwana muwala Judith Heard munnabyamisono era omu ku bamanyiddwa okulya obulamu ayingizzaawo wolole omupya ate ku luno afunye musajja kubanga bulijjo abadde alina bakazi.
 

 

Omuvubuka ono obwedda ayogeza abantu obwama yategeerekeseeko erya Brian era abasinga bamumanyi nga muyambi w’omuyimbiAngela Katatumba gw’abadde 
atera okukwatira ensawo.
 
Ku Lwokubiri, Judith Heard bwe yazze okwetaba ku mukolo gw’ebyobuwangwa ogwabadde ku National Theatre, yazze n’omuvubuka ono nga yamukwatidde ensawo n’amasimu era obwedda abalaba Judith Heard ng’amuwa ebiragiro omuli n’okumukwata ebifaananyi ku ssimu baawuliddwa nga beebuuza nti “Judith Heard yapasudde woolole wa Katatumba?
 
Ate abalala ebya wolole baabivuddeko ne badda ku ‘nnigiina’ omuvubuka gye yabadde yeesaze. Oba omukolo gwe yabadde agendako teyagutegedde bulungi? Nze naawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba