TOP

Fresh Kid ‘Uganda’ bamukubyeko ekyasi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2019

EBY’OKUSIKA omuguwa wakati wa taata wa Fresh Kid ne maneja nga bikyagenda mu maaso, maneja atemye empenda n’asalawo okuwandiisa omuyimbi omuto omulala.

Remak 703x422

EBY’OKUSIKA omuguwa wakati wa taata wa Fresh Kid ne maneja nga bikyagenda mu maaso, maneja atemye empenda n’asalawo okuwandiisa omuyimbi omuto omulala.
 
Francis nga ye maneja wa Fresh Kid akubye olukuηηaana mw’ategeerezza nga bw’awandiisizza omuyimbi omupya amanyiddwa nga Rema K mu kibiina kya Texas era agenda kukolera wamu ne Fresh Kid.
 
Nga bw’olabira ddala ekika ky’omuziki Fresh Kid ky’akuba, ne Rema K ky’agenda okukuba ekya “Rugga Flow”. Francis agamba nti musanyufu nnyo okufuna omuyimbi
omulala ate ng’amulabamu ekitone. Bano bombi ba myaka musanvu. Fresh Kid ku ngeri obwedda gye yeeyisaamu n’omuntu gwe baamuleetedde ng’oyinza okulowooza nti baamanyagana dda.
 
Obwedda beesunaasuna, bwe beekuba obwama n’okwekwata mu nviiri. Isaac Kuteesa taata wa Rema Kirabo (Rema K) yategeezezza nti bakkiriziganyizza ne maneja Francis n’amuwa omwana we, amuyambe okutumbula ekitone kye.
 
Rema K ye ategeezezza nti mwetegefu okuyimba ensi yona emumanye ate nga bw’asoma kubanga e Masaka abadde ayimba ate nga bw’asoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop2 220x290

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo...

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo n'agenda okwetunda Poliisi emukutte

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...