TOP

Yiino goloofa ya Sheebah eyogeza banne obwama!

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2019

“Nga tonnaba kufa teweevuma nsi! Ani yali amanyi nti Sheebah eyakulira mu nzigotta z’e Kawempe bulikya n’azimba amaka ag’omulembe e Munyonyo mu bagagga okuliraana Speke Resort?’’.

Kuba 703x422

N’okutuusa kati Sheebah Karungi akyayogeza abantu obwama olw’amaka ag’omulembe ge yazimbye.

Mu kwogera ku mukolo gwe yategese ng’ayingira ennyumba ye ku Mmnade, yasoomoozezza abayimbi abadda mu kwejalabya mu kifo ky’okwekulaakulanya.

Olw’essanyu eringi, Sheebah yatuuse n’okugamba nti “Bwe nzijukira embeera gye nayitamu nga ntya n’okulaga mikwano gyange akazigo mwe nakulira, siyinza butamutendereza oyo Omutonzi atalemererwa asobola okukujja mu mbeera ey’obuyinike n’akutuusa mu baloodi nga bwendi kati’’.

Ng’oggyeeko abawagizi be, Sheebah yasiimye banne bwe bakola mu kibiina kya ‘Team No Sleep’ (TNS) baagamba nti tebamukotoggedde wabula bamuwagidde okuviira ddala mu ntandikwa ng’agula ettaka okutuusa lw’amalirizza kalina ye.

Yatenderezza Jeff Kiwa abakulira nti ssinga si ye ennyumba eno teyandisobodde kugizimba kubanga ku kumufunira emirimu abadde amukubiriza okutereka ssente n’okulaba ng’amaka gano gazimbibwa.

Yawakanyiza ebyogerwa nti ennyumba ya Jeff n’ategeeza nga bweri eyiye ng’era agizimbye mu ntuuyo ze.

Abayimbi okuli: Roden Y Kabako, Aziz Azion, Grenade n’abalala baasanyusizza abagenyi. Yagabudde abantu ebyokulya n’okunywa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo