TOP

Kayemba afuuse kafulu mu kukutula ddiiru z’abazannyi

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2019

Kayemba afuuse kafulu mu kukutula ddiiru z’abazannyi

Kay1 703x422

Maneja Kayemba wakati ne omuzannyi wa Uganda Cranes Kahalid Aucho gweyatunze

GODFREY Kayemba (wakati) ow’e Bukomansimbi takyazannyirwako. Afuuse kafulu mu kunoonya akatale k’abazannyi n’okubatunda.

W’osomera bino ng’omuwuwuttanyi wa Cranes, Khalid Aucho (ku kkono) yagudde dda mu bintu, kiraabu ye Misiri El-Makkasa bw’emukansizza ku doola 600,000 ku ndagaano ya myaka ebiri.

Aucho abadde mpagi luwaga okuyamba Cranes okuva mu kibinja ky’empaka za Afrika eziyindira e Misiri. Yabadde mu kiraabu ya Churchill Brothers wabula endagaano ye yaweddeko era yagendedde ku bwereere.

Kigambibwa nti buli mwezi Aucho waakufuna obukadde obusukka mu 92. Godfrey Kayemba ye yabadde wakati wa ddiiru eno nga kittunzi we. Abalala baatunze kuliko: Yasser Mugerwa (Orlando Pirates), Joseph Ochaya (Lusaka Dynamos, Zambia), Derrick Nsibambi (Smouha Morocco) n’abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte