TOP

Rema Namakula takyagatta buliri na Eddy Kenzo?

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2019

AGAVA e Sseguku ku Ntebe Road ge g’abayimbi Eddy Kenzo ne mukyala we Rema Namakula abamu gwe beeyitira Maama Amaal okuba nga tebakyagatta buliri.

Rema 703x422

AGAVA e Sseguku ku Ntebe Road ge g’abayimbi Eddy Kenzo ne mukyala we Rema Namakula abamu gwe beeyitira Maama Amaal okuba nga tebakyagatta buliri.

Omu banywanyi ba Rema yatugambye nti omukyala ono bw’aba akyaliyo e Sseguku, alabika ali ku njogera ya ‘‘ndiwo lw’abaana’’ mpozzi n’okukuuma emmaali ng’agamba nti tajja kukkiriza Kenzo kumutwalako nnyumba eno ng’ate naye yateekako ssente nnyingi nga bagigula.

Waliwo n’atukubye akaama nti Rema yalaba akooye empewo y’ekiro kwe kufunayo Dokita amubiita nga ne gye buvuddeko yamuwoowa.

Bino okubaawo nga babaddeko ku ddwaaliro erimu ku Bombo Road okwetegereza ebintu eby’enjawulo ku bulamu bwabwe omwali ne Rema okuggyamu obuweta obuziyiza okufuna olubuto bwe yali akozesa.

Omuntu ono yatugambye nti bwe mulaba Rema ng’ayoya obuyembe oba okugejja ebitali bya bulijjo ng’amanya nti Dokita amukozeemu omulimu kubanga ekituufu kiri nti ye ne Kenzo ebya laavu byaggwaawo.

Omukyala ono okutuuka ku kino aludde ng’alaajanira Eddy Kenzo okumuwa omukwano ogumala n’atuuka n’okumugamba nti bwe bamukubanga bbusu teyeekanga.

Obubaka obusinga Rema azze abuyisa mu nnyinba ze nga: Linda, Siri Muyembe, Touch my body, Tikkula n’olupya ‘Be with u’.

Kigambibwa nti Eddy Kenzo kati akasibira mu bitundu by’e Buziga okumpi ne Buziga Country Resort gy’abeera n’abantu be n’okwetooloolwa abawala ab’enjawulo nga tetunnaba kutegeera mutuufu yakubye Maama Amaal bbusu ne bamusuula mu ggoloofa amatiribona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.