TOP

Fresh Daddy abawala batandise okumwerippa

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2019

OBWASSEREEBU tebuva wala naye ne Fresh Daddy manya taata wa Fresh Kid bwe yayimbye ‘Mazike’ kati takyava mu bbaala era ne bamaama batandise okumwerippako.

Mazike 703x422

Bwe yabadde mu bbaala ya Amnesia ng’agenze okubalaga ffoomu gy’aliko mu kuyimba, waliwo mwanamuwala eyabadde amuwembejja ndowooza ng’agamba nti kaafuuse ssereebu ne bamufuuwa ne ssente osanga ayinza okuvaamu ekibaluka.

Wasoose kubeerawo okwesika amataayi n’olutalo lw’ebigambo maneja wa Spice Diana bwe yabadde afaafaagana n’omuyimbi Kalifa Aganaga ng’ono ye maneja wa Taata wa Fresh Kid.

Entabwe yavudde ku maneja wa Spice Diana okunyooma Taata wa Fresh Kid nti talina by’ayimba era okuyimba akwesonyiwe kuba ayonoona erinnya ly’omwana n’okumuttira talanta ye.

Olutalo lwatandikidde mu bbaala ya Wave nga Kalifah yasoose kulumba DJ eyabadde akuba oluyimba lwa Spice Diana n’aluggyako n’atwala ne ‘Flash’ oluyimba luno kwe lwabadde.

Yafulumye n’agenda ku bbaala ya Amnesia ng’eno Fresh Daddy gye yabadde alina okuyimbira oluyimba lwe olwa Mazike.

Kalifa yabadde yaakatuuka Roger n’amusalako ne bawaanyisiganya ebisongovu era embeera eno yakanze Taata wa Fresh Kid manya Paul Mutabazi okukkakkana nga yeekukumye mu kawunta.

Eno yavuddeyo nga bamuyise okuyimba ng’alabika n’okukankana akankana era mwanamuwala ye yamubuzeebuze n’aggwaamu ekiwuggwe. Oba yakomye wa n’omuwala ono, eky’okuddamu nze naawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye