TOP

Abtex ne Kabanda bakyaguluba

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2019

EBY’OMUTEGESI w’ebivvulu Abbey Musinguzi (owookubiri ku kkono) amanyiddwa nga Abtex n’omusuubuzi w’engatto, era ‘manerenda’, John Kabanda (mu katono) tebinnaggwa!

Pala 703x422

Abtex atutte Kabanda mu kkooti ng’ayagala amuliyirire obukadde 600 lwa kumwonoonera linnya.

Kabanda amaze ebbanga ng’aliisa Abtex akakanja olw’ebbanja lya 19,300,000/- z’agamba nti yazimuwola ne banne abalala basatu okutegeka ekivvulu omwaka oguwedde ne zimulema okusasula.

Ono azze amulinnya akagere era lumu yaamutaayirizza ku kitebe kya Vision Group e Lugogo nga buli lw’amukwata abaako omutemwa gw’asasula okutuusa lwe yazimalayo.

Wabula Abtex agamba nti wadde yasasula Kabanda ssente obwedda zaayita ‘ez’ekifere’, yasigala amutambulirako ng’olumu akozesa poliisi n’agattako okumusalako ebigambo ng’amuyita omubbi era omuyaaye ky’agamba nti kimwonoonera erinnya.

Abtex agamba nti ne ssente ezoogerwako Kabanda teyazimuwola wabula zaava mu kweyimira bayimbi Mathias Walukaaga ne Vincent Ssegawa abeewoola obukadde 10 ku Kabanda ne zibalema okusasula ensonga zonna n’azizza ku ye (Abtex).

Mu mbeera eya atakulekera naawe tomulekera, ku Lwokuna, Abtex ng’ali ne munnamateeka we Abubakar Ssekanjako baagenze mu kkooti enkulu ekola ku misango gy’engassi ne bawawaabira Kabanda ne Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Mu mpaaba ayagala kkooti erangirire nti ddala Kabanda yamwonoonera erinnya era amuliyirire.

Wabula Kabanda bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti alize kumuyita mu kkooti battunke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata