TOP

Poliisi etufiirizza obukadde 540

By Musasi wa Bukedde

Added 5th August 2019

BATEGESI b’ebivvulu Abbey Musinguzi owa Abtex Promotions ne Ssaalongo Andrew Mukasa owa Bajjo Events batwala Dayirekita wa poliisi avunaanyizibwa ku bikwekweto, Asuman Mugenyi mu kkooti. Bagamba nti Mugenyi ye yateeka omukono ku kiwandiiko ekibakkiriza okutegeka ‘‘Ekyepukulu Ani Asinga 2019’’ mu kisaawe e Wankululuku ate y’omu ye yabayimirizza. Ky’abadde kirina kubaawo ku Ssande nga August 4.

Abtexnebajjo2newaaa 703x422

Bajjo ne Abtex nga bibasobedde

ABATEGESI b’ebivvulu Abbey Musinguzi owa Abtex Promotions ne Ssaalongo Andrew Mukasa owa Bajjo Events batwala Dayirekita wa poliisi avunaanyizibwa ku bikwekweto, Asuman Mugenyi mu kkooti. Bagamba nti Mugenyi ye yateeka omukono ku kiwandiiko ekibakkiriza okutegeka ‘‘Ekyepukulu Ani Asinga 2019’’ mu kisaawe e Wankululuku ate y’omu ye yabayimirizza. Ky’abadde kirina kubaawo ku Ssande nga August 4.

‘‘Bino ebivvulu tubikolanga bizinensi era twewola obukadde 300 kwe twagatta ezaffe okutegeka ekivvulu kino nga bbanka eyagala amagoba ga bukadde 100. Kati omuntu okukeera ku makya n’ayimiriza  ekivvulu kino nga wabulayo ennaku bbiri zokka kyokka nga tukirangidde emyezi egisukka mu ebiri mba sibitegeera era tetugenda kukkiriza poliisi kutwavuwaza nga tulaba’’. Abtex eyabadde omunakuwavu bwe yategeezezza.

Eggulo Abtex ne Bajjo baawadde Munnamateeka waabwe Erias Lukwago ekiragiro okuwawaabira poliisi olw’okulemesa ekivvulu kyabwe. Baagala Gavumenti ebaliyirire obukadde obusoba mu 500 okuli: ze baatadde mu kulanga ku ttivvi ne leediyo ez’enjawulo, okulanga mu mpapula z’amawulire, okukuba ‘bbaana’, okusasulira ekisaawe n’ebyuma bye baataddemu obukadde 180.

Endala kuliko ze baasasula abayimbi ne bakazannyirizi obukadde 150 n’ebirala wamu n’amagoba ge babadde basuubira okufunamu. Bajjo eyasangiddwa ku poliisi e Wankulukuku gye yabadde agenze okweyanjula eggulo yategeezezza nti, ‘‘Ffe tetuli bannabyabufuzi era tetumanyi lwaki gavumenti etuyigganya okuggyako ng’eyagala  kutusibira mu bwavu.

Bajjo ne Abtex poliisi yabakwatidde ku kisaawe e Wankuluku ku Ssande ne babakunguzza okubatwala ku poliisi ya Jinja Road gye baabasibidde okumala akabanga ne babata ekiro nga babalanga okukuma omuliro mu bantu. Ku poliisi y’e Wankulukuku baatuukidde mu ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango eyasoose okubaako b’abakubira essimu n’oluvannyuma n’abalagira baddeyo ku Lwokuna lwa wiiki eno.

Okusinziira ku looya waabwe, Erias Lukwago, abantu be bano poliisi yabagguddeko emisango ebiri okuli: okukuba olukung’aana olumenya amateeka n’okukuma omuliro mu bantu. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiraano, Patrick Onyango yategeezezza nti okuyimiriza ekivvulu kino baatidde nti waabadde wayinza okubeerawo embeera etali ya butebenkevu eri abantu abangi ababadde basuubirwa okukyetabamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...