TOP

Bridget Namitala akiggadde

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2019

EYALI omukozi wa Bukedde TV, Bridget Namitala ng’akola pulogulaamu y’Omuntu w’abantu agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne bba gwe bamaze naye emyaka mukaaga mu Amerika.

5724f5ccc7354cb5ad5bfb5c6a20626b 703x422

Okugattibwa kwabadde mu Klezia ya St. Gregory Catholic Church ku Lwomukaaga, e San Mateo mu kibuga San Francisco eky’essaza ly’e California mu Amerika.

Yagattiddwa ne Arthur Ssembuusi nga bombi babeera San Rafael mu kibuga San Francisco.

Balina omwana omu omuwala era ye yabadde ‘flower girl.’ Abaana baabwe abalala be bamu ku baabadde emperekeze.

Abagenyi baabadde bangi ekitatera kuba ku mbaga z’e Bulaaya kubanga bangi baba ku mirimu ate bwe kituuka ku Amerika kiba kizibu kubanga ensi nnene ng’abantu beesudde.

Kino tekyabagaanyi kuva yonna gye bali ne beeyiwa ku lyato okwabadde emikolo gy’embaga era nga baaseeyeeyezza okuva ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi okutuuka ku 6:00 ez’ekiro. Olwavudde eno ne bagenda ku ‘After party’ mu bbala mwe baakeeserezza.

Embaga yeetabiddwako Bannayuganda ababeera mu Amerika okuli: Winnie Munyenga, Ruth Wanyana, Eddy Kironde, Mummy Jalia mukyala wa Mw. Abby Walusimbi, Sennoga Maayi Namakookiro n’abalala okuva mu masaza ag’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...