OMUYIMBI Big Eye omuziki gwe Uganda gw’andiba nga gumukeese n’adduka. Asibidde Bungereza gye yafunye obubudamo. Oba yagenze kukuba kyeyo, oba kulaba maama w’omwana we? Nze naawe.
Loodi ono azze yeekwasa bayimbi banne okumwogerera amafuukuule olw’okubeera mu kibiina kya Bryan White Foundation ekiwagira ennyo Pulezidenti Museveni.
Wiiki ewedde yalinnye ebbaati n’agenda e Bungereza ye kye yayise okuwummula ku bigambo by’abateesi kyokka waliwo atugambye nti ebyo ayogera bya kwekwasa ekituufu kiri nti omuziki gwe Uganda gubadde gumukeese.
Era yatugambye nti bwe yayawukana ne mukyala we Donzella, yafunayo omukazi omulala ebeera e Bungereza nga kirabika gwe yagenze okulaba ne bbebi waabwe. Big Eye omu ku bammemba ba ‘Podium’ ye yayimba ennyimba nga ‘‘Phisically fit, Tusaasaanya, Self Contained, Salompasi’ n’endala.