TOP

Omukazi yannema lwa kweraguza

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2019

Omukazi yannema lwa kweraguza

Sit2 703x422

OBUFUMBO bunyuma nnyo nga muwuliziganya. Nze Yunusu Mubiru 43, mbeera Zzana - Bunnamwaya.

Nze ensonga z'omukwano mu kusooka zaali za nkalu olw'embeera ze nnasanga mu mukyala wange gwe nnasooka okuwasa.

Ng’omusajja yenna, nange bwe nnasajjakula ne ndaba nga nsaanye okufunayo mwana munnange gwe nsobola okubeera naye era n'enfuna omukazi ne tusiimagana. Nnamusaba nga bwe nnali njagala omuwasa naye ky'atagaana kye yava ansaba asooke antwale ewa mmwannyina andabe bw'anzikiriza mmuwase.

Mukoddomi wange nnagenda ne mmulaba era n'akkiriza okumpa mwannyina okumuwasa mu bakadde tuligenda nga twetereezezza. Wano essanyu lyaffe ery'omukwano we lyatandikira ne munnange ono era nga mwagala naye ng’anjagala era nga tukuumagana ng’abafumbo.

Tuba tumaze omwaka gumu n'ekitundu mu bufumbo bwaffe nga mmaze n'okumuzaalamu omwana, hhenda okulaba ng’atandise emize gye saasooka kufaako nga ndowooza anaakyusa.

Omuze mukazi wange oyo gwe yalina gwali gwa kweraguza era nga guno gwanteeka nnyo ku bunkenke olw'ensonga nti nze muntu eyakula nga ssaagala bintu bino. Nnamukwata enfunda nnyingi n'eddagala lye saamanyanga makulu gaalyo era ne ngezaako okumubuulirira naye n'alema.

Ekirala Mukyala wange yatandikanga buli kadde ne ntandikanga n’okutya okudda awaka ng’obudde bukyali olw’okutya omukazi okuntabukira. Bwe nnalaba munnange agaanyi okukyusa mu mbeera ze ez'okuyomba n'okweraguza ne nsalawo mmwenenye o twawukane awatali kwetuusako buzibu.

Mu kiseera kino nnina omukyala omulala gwe nnawasa ampadde essanyu kubanga tukkaanya mu buli nsonga ampabula ne mmuwabula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gendayo 220x290

Kiki ekinakuwazza Naava Grey?

NAYE kiki ekyanyiizizza omuyimbi Naava Grey alyoke anakuwalire ku mukolo gwa munne bw’ati!

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...