Omusumba w’obussaabadinkoni bw’e Kazo, Micheal Kisawuzi Wasswa (ku ddyo) ow’Ekkanisa ya Kazo eyalyoye emyoyo yasabye bonna abazze n’eddogo okwekiika mu mikisa gya ssentebe balizzeeyo.
“Kati wano waliwo abazze n’eddogo nga balisibye mu kikondoolo. Baagala okulemesa ssentebe wabula byonna mbisabidde nga tewali ddogo lijja kwetantalawo, teri kuzaala baana ba bizibu na balema mu maka gano,’’ bwe yasabye.
Omanyi ssentebe Bogere Pakakya bwe yabadde ayingira amaka yagabudde abantu ne balya n’okunywa.
Teyakomye awo yalaze abatuuze omusika we nga ye muwala we Hilda Bogere (12) (owookubiri ku kkono) nga waakusatu mu baana ng’agamba nti yadde alina abaana abalenzi naye ono abamulaze akyali mulamu era tebamuteekangako akabuuza.
Bangi baasigadde beewuunaganya lwaki alonze muwala okumusikira!