TOP

Ow'e Makerere eyazze ne kkeesi y'ekyuma bamujunye

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

OMUVUBUKA Henry Ssuubi Kiyimba 20, y’omu ku baakola obulungi ebigezo bya S6 era n’aweebwa ekifo mu yunivasite y’e Makerere. Wiiki ewedde yayingiddewo n’enjogera ya ‘‘jjangu nga bw’oli’’ atandike okusoma. Yazze ne kkeesi y’ekyuma, ekiveera kya ‘Usofia’ n’akasawo ku mugongo atandike okusoma.

Makererestudenttalina 703x422

Kiyimba ne Polof. Nawangwe

OMUVUBUKA Henry Ssuubi Kiyimba 20, y’omu ku baakola obulungi ebigezo bya S6 era n’aweebwa ekifo mu yunivasite y’e Makerere. Wiiki ewedde yayingiddewo n’enjogera ya ‘‘jjangu nga bw’oli’’ atandike okusoma.

Yazze ne kkeesi y’ekyuma, ekiveera kya ‘Usofia’ n’akasawo ku mugongo atandike okusoma. Bayizi banne olw’amulabye ng’ayingira yuniekisulo kya yunivasite Hall bazze mu kuseka nga balowooza ali mu kifo kikyamu.

Baamukubye ebifaananyi ne babiteeka ku yintanenti nga bwe bamujerega ekyanyiizizza abantu era bangi baakwatiddwako ne beekolamu omulimu okumuyamba ave mu mbeera embi. Mu bano mwe mwabadde omumyuka wa Cansala wa yunivasite y’e Makerere, Polof. Barnabas Nawangwe eyamuyise n’amugumya n’okumubuulirira.

Ono yeegattiddwaako Cedric Babu ne Allan Kasujja abaakulembeddemu ekiwendo ky’okumunoonyeza obuyambi omuli obuliri, kkeesi ey’omulembe, engoye, essimu, laptop n’ebirala. Kiyimba yavudde Kammengo nga yasomera St. Bruno’s Sserunkuma SS Ggoli gye yakolera PEM/ICT n’afuna obubonero 17.

Yagambye nti newankubadde yali ayagala kusoma bwa yinginiya, mumativu ne kkoosi y’obusomesa gye baamuwadde n’alaga essanyu olw’abantu abavuddeyo okumuyamba n’agamba nti Katonda mulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...