TOP

Stabua Natooro yenkana n’abaana be

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

Stabua Natooro yenkana n’abaana be

Bd2 703x422

OMUYIMBI Stabua Natooro (owookubiri ku kkono) alaze abaana be omukaaga kyokka abakulu oyinza okulowooza be bamuddako oba benkana naye.

Yagambye nti abaana ababiri bali ku yunivasite ate asembayo ali mu siniya eyookuna. Abaana bano yabalagidde ku kabaga ke yeebalizzaako Maj. Gen. Elly Kayanja ne mutoowe Flex Kabuye abaamugya e Masaka mu Kibinge ne bamuleeta e Kampala okuyimba.

Yabadde mu makaage e Ndejje - Zana ku lw’e Ntebe n’abategeeza by’afunye mu kuyimba okuli: ennyumba, okuweerera abaana n’ettutumu. Abalala abaabaddewo kwabaddeko omugagga Kirumira, Ragga Dee ne Dr. Hilderman. Awaka alinawo n’abaana b’abaganda be b’alabirira.

Yategeezezza nti buli ssente z’afuna azissa mu kulabirira famire ye. Gen. Kayanja ne Flex baayise mu buzibu bwe baasanga nga baleese Natooro e Kampala ng’abayimbi abasinga gye baamutwalanga okuyambibwa nga bamwesamba nti tajja kusobola kuyimba.

Stabua ye yayimba ennyimba nga Weebale Kusiima, Tujanjawaze, Kweraga n’endala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye