TOP

Kojja Kitonsa ennyimba z’abayimbi agula za mbiro?

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

Kojja Kitonsa ennyimba z’abayimbi agula za mbiro?

Kab2 703x422

EBYA Kojja Kitonsa (ku kkono) n’abayimbi abamuwandiikira ennyimba z’abayimbi be bibuzaabuza. Abavubuka bano okuli: Godfrey Katongole ne Lasson Kigozi aba Lasson Music bagamba nti babanja Kojja Kitonsa emitwalo 85 ez’ennyimba z’omuyimbi we Grace Khan okuli:

Ngule ne Wakiggala. Baagambye nti baategeeragana akakadde kamu ku nnyimba bbiri ng’olumu lwa mitwalo 30 ate olulala emitwalo 70 n’abawaako emitwalo 15 gyokka.

“Omusajja oyo ayagala kwekyusa, olunaku lwe yatugamba okutuweerako bbalansi waffe lwayitako dda kyokka bwe tumukubira essimu tagikwata naye kati ye ssaawa naffe tumulageko era kati tumunoonya” obwedda bwe batyo bwe bawera.

Kyokka Kojja Kitonsa gwe twayogedde naye ku nsonga eno agamba nti bano abavubuka bagezaako kwonoona linnya lye kubanga ku ssente ze baategeeragana yabawaako emitwalo 85 ne basigala nga babanja emitwalo 15 z’alina okubawa nga bamaze okukola vidiyo z’ennyimba zino.

Kitonsa eyabadde n’endagaano ya ddiiru eno yagambye nti wadde abavubuka bano bagamba nti bamunoonya, naye abanoonya era agenda kubakuba mu mbuga z’amateeka abavunaane okumwonoonera erinnya lye.

“Ye lwaki temwampise nga bazze awo kubanga awo wennyini we nabadde nnina okubakwatira. Batambudde ku mikutu gy’amawulire egyenjawulo nga bansalako ebigambo naye kirabika kati tugende mu mateeka tuttunke

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga