TOP

Afande oyo omukazi yanzibye

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Afande oyo omukazi yanzibye

Fut2 703x422

MUZEEYI Sulaiman Katongole (ku kkono) atera okuyitako mu katale n’atemesa ng’amba okugula bamalaaya.

Ne ku luno alina gwe yasasudde 20,000/- n’amutwala okwesanyusaamu. Baabadde baakatandika okunyumya akaboozi nga ne lawunda esooka tennaba kuggwaako omuwala ne yeecanga ng’agamba nti ssente ze ziweddeyo.

Kino kyanyiizizza Katongole n’akwata omuwala ku mpaka okumalayo ssente ze ye kye yayise okugezaako okumutuga ng’agamba nti tayinza kukkiriza kumubba ng’alaba. Omuwala yamwetakkuluzzaako n’adduka era yasibidde ku poliisi y’omu Kironde Zooni mu Ndeeba n’amuloopa.

Eno abaserikale baamukunyizza amaaso ne gamumyuka. “Afande ne bw’oba ggwe, mazima ddala omukazi tetwatuuse wadde mu makkati ga lugendo n’ankasuka eri ate nga nasasudde, nange ssente zange zinnuma” Katongole bwe yagambye.

Abakazi baamulumiriza omuze gw’okutuga buli muwala gw’aganza ne bategeeza nti kirabika aliko ekizibu. Akulira poliisi y’omu Kironde, Justus Bwire yagambye nti guno si gwe mulundi ogusoose Katongole okuwawaabirwa abakazi. Yamuwadde okulabula okusembayo obutakiddamu n’ateebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup