TOP

Ekivvulu kya Toto kiri Mbarara

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2019

EKIVVULU ky’abaana ekya Toto eky’omulundi ogwokusatu e Mbarara kitongozeddwa ku ofi isi za kkampumi ya Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde mu kibangirizi kya bannamakolero.

Grace Nampiima (ku kkono) abasinga gwe bamanyi nga Aunt Toto agamba, ekivvulu kino bakituumye Toto Mbarara Festival nga kigenda kubeera mu Kakyeka Stadium e Mbarara nga September 1 ng’okuyingira kwa ssaawa 2.00 ez’oku makya.

Abaana bajja kusasula 10,000/- buli omu ate omukulu ajja kuyingirira bwereere.

Yagambye nti enteekateeka y’omulundi guno essiddwaamu ebintu bingi ate nga bisanyusa omuzadde asobole okubeerawo n’omwana we nga banyumirwa.

Wajja kusookawo empaka z’okwolesa ebitone by’abaana abali wakati w’emyaka 4 ne 13 nga 31 August ng’omuyimbi Mun G y’agenda okubeera omu ku bagenda okuziramula ng’omuwanguzi waakusitukira mu bisale by’essomero n’ebirabo ebirala.

Ekivvulu kino aba kkampuni ekola sooda wa Pepsi nabo bakitaddemu ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...