TOP

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2019

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde pikipiki, eggaali mmaanyi ga kifuba, bulangiti, essigiri ne ssente enkalu. Omu ku banywanyi ba Kato Lubwama atugambye nti ebintu bino byawemmense obukadde obusukka mu 50.

Katolubwamalubaga2 703x422

Kato Lubwama ng'asiika empuuta

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde pikipiki, eggaali mmaanyi ga kifuba, bulangiti, essigiri ne ssente enkalu.

Omu ku banywanyi ba Kato Lubwama atugambye nti ebintu bino byawemmense obukadde obusukka mu 50.

 ato ubwama ngagaba eggaali Kato Lubwama ng'agaba eggaali

 


Omukolo gwabadde Busega mu Kibumbiro nga gwatandise n’okukola bulungibwansi n’abatuuze. Okutuuka e Kibumbiro awaabadde omukolo, Kato Lubwama yagenze atambula nga bw’abuuza ku balonzi be.

Waliwo we yasanze omukyala asiika empuuta akawoowo ne kamukuba n’akyama n’akwata ejjaalo (ekisiika empuuta) n’atandika okukebera ebifi byayinza okumugulako.

bamu ku bakadde abaafunye bulangitiAbamu ku bakadde abaafunye bulangiti

 

Guno omukolo we gugyidde nga Kato Lubwama y’akagaba ebintu nga bino mu miruka emirala omuli Ndeeba yabawa bodaboda 15, Nateete bodaboda munaana, ebyalaani ne Ambyulensi ate Kabowa n’abawa bodaboda munaana, ebyalaani n’ebyuma ebyoza mmotoka.

 ato ubwama ngakola bulungibwansi nabatuuze Kato Lubwama ng'akola bulungibwansi n'abatuuze

 

Kato Lubwama yagambye nti yaakasaasaanya obukadde obusukka mu 200 ng’addiza ku balonzi be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja