TOP

Kabako ne mukyala we engoye zibasiiwa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

OMUYIMBI Yusuf Ssennabulya eyeeyita Roden Y Kabako ‘Magye ga ku ttaka’ ne mukyala we kirabika engoye zibasiiwa.

Kabakoyeeyambudde 703x422

Kabako ku siteegi

OMUYIMBI Yusuf Ssennabulya eyeeyita Roden Y Kabako ‘Magye ga ku ttaka’ ne mukyala we kirabika engoye zibasiiwa. Kabako alina ekivvulu kye yabaddeko ku Freedom City e Namasuba.

Yazze yeesaze ekinu n’omujoozi era olwatuuse ne yeeyambulamu omujoozi n’atandika okukubira abadigize omuziki nga bwe yeecanga. Twabadde tukyatenda Kabako okwecangira ku siteegi ng’alinnyiddwaako emmandwa  ne muninkini we manya mukyala we n’ayingirawo n’atandika okumukuba ebifaananyi n’okukwata vidiyo ng’akozesa essimu.

abako ku siteegiKabako ku siteegi

 

Ono yabadde yeesaze bbulawuzi ya kkundi sho, akapale akakoma mu bisambi akaakazibwako erya ‘Patula’ n’ekikooti kya ‘damegi’ ng’oyinza okulowooza nti ali waka.  Abadigize baawuliddwa nga bagamba nti abaagalana bano beesaana kubanga tewali anenya munne kwambala bubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja