TOP

Ssente z'ekivvulu kya Gravity z'akuweerera baana

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2019

OMUYIMBI Gravity Omutujju (owookubiri ku ddyo) akomyewo n’ekivvulu ‘‘Eky’akuzaala Concert’’. Akitadde ku Cricket Oval e Lugogo nga September 21, 2019.

Mutujju3 703x422

Gravity Omutujju

OMUYIMBI Gravity Omutujju (owookubiri ku ddyo) akomyewo n’ekivvulu ‘‘Eky’akuzaala Concert’’. Akitadde ku Cricket Oval e Lugogo nga September 21, 2019. Kiwagiddwa New Vision efulumya ne Bukedde.

Gravity Omutujju yagambye nti ku lunaku luno emisana agenda kusanyusa abaana abato ate ekiro akubire abakulu omuziki n’asaba abazadde obutamuyiwa.

Mu ngeri y’okwekubagiza, Gravity yagambye nti wadde ye teyasoma kugenda wala, tekimugaana kuyamba bantu balala kutuukiriza birooto byabwe n’agamba nti ku ssente z’agenda okufuna mu kivvulu kino agenda kusasulira abaana babiri omulenzi n’omuwala ffiizi z’okusoma mu siniya.

Yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya Vision Group ku Lwokubiri. Nga September 22, ali ku Afro e Nansana, September 26, ali ku Victoria Gardens e Kiyindi ate nga September 28, 2019 omuziki agukubire ku Satellite Beach e Mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...