TOP

Amaziga g'omukazi ku Serena

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2019

CATHERINE Kusaasira abamu gwe baakazaako erya Maama Kabina akooye abasajja abatulugunya abakazi. Abakubyemu oluyimba ‘Mutulugunye’ ekitegeeza ‘‘Tears of a woman’ oba ‘Amaziga g’omukazi’.

Tearsofawomancut 703x422

Catherine Kusaasira

CATHERINE Kusaasira abamu gwe baakazaako erya Maama Kabina akooye  abasajja abatulugunya abakazi. Abakubyemu oluyimba ‘Mutulugunye’ ekitegeeza ‘‘Tears of a woman’  oba ‘Amaziga g’omukazi’.

Kusaasira alabye oluyimba luno lukutte bamaama omubabiro n’asalawo okutegekayo ekivvulu ayongere okulangira abasajja abalinnyirira abakazi. Ekivvulu kino ekituumiddwa ‘‘Catherine Kusaasira live in Tears of a woman’ kigenda kubeera ku Serena Hotel nga September 20, 2019.

Kusaasira agamba nti abakazi abasinga omuli n’abanene mu gavumenti  oba abakyala abaasoma batudde ku nkato nga buli kiseera babeera mu maziga. Ate bwe gutuuka ku banoonya emirimu, abayizi mu matendekero aga waggulu abasajja babatulugunya nnyo ng’akaboozi bakakozesanga omutego okufuna bye baagala n’abali mu bufumbo okubasiibya ku miggo.

Newankubadde bangi bayita mu mbeera eno, bafa kisiiri olw’okutya okuswala bwe batyo ne basigala nga bakaaba emirembe gyonna.
Ekivvulu kino kitegekeddwa Musa Kavuma owa KT Events ne kiwagirwa Vision Group efulumya ne Bukedde.
Okuyingira 100,000/- ate emmeeza obukadde busatu. Kusaasira alina ennyimba endala nga Teriba ddogo, Nkola ya takisi n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...