TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Katsha De Bank agenda kuzimbira ab'e Mityana gye yakulira essomero

Katsha De Bank agenda kuzimbira ab'e Mityana gye yakulira essomero

By Musa Ssemwanga

Added 2nd September 2019

Katsha De Bank (Shafique Katumba) omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa gy'alina bizinensi ezenjawulo yeesowoddeyo okuzimbira Bannamityana essomero.

Nyuma1 703x422

Katsha y'omu ku bankubakyeyo e South Africa abamanyiddwa mu kuvuganya mu by'esswaga n’okulaga ssente mu nkola y'okujooga nga bakomyewo buli December. 

Ono ng'agiyita mu kibiina kye ekya Katsche Technology Group ekizingiramu kampuni ezisoba mu 50 nga ziri South Afrika.

Ng'atongoza enteekateeka eno e Mityana , Katsha ategeezezza pulojekiti nnyingi z'awomyemu omutwe ng'ayita mu kibiina kye kyokka ey'ebyengiriza by'asinga okussaako essira.

Agamba nti ye mwana nzaalwa ya Mityana kuba gye yakulira n'agamba nti ekimu ku birooto bye ku kulaba nga teri mwana awanduka mu ssomero era ng'ayita mu nteekateeka eno waakukola kyonna ekisoboka okulaba nga n'abo abaawanduka mu ssomero olw'ebisale n'ensonga endala baddayo nate okusoma olwo alyoke atuukirize ekirooto kye.

Agenda kuzimba essomero ly'ekisulo nga liriko Nnasale ne Pulayimale n'agamba nti nga Katsha Foundation beeteefuteefu okulaba nga bakyusa obulamu bwa bannansi.

Katsha alina amasomero mangi e South Afrika okuli aga; Technical, computer, ne nursing ng'agaba ne basale eri Bannayuganda okusomerako mw'ago amasomero.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...