TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Bebe Cool bamuweerezza obubaka obutiisatiisa okutta nnyina n'asattira: Akissizza ku booludda oluvuganya

Bebe Cool bamuweerezza obubaka obutiisatiisa okutta nnyina n'asattira: Akissizza ku booludda oluvuganya

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2019

Wabaddewo okuwanyisiganya ebigambo wakati w'omuyimbi Bebe Cool Moses Ssali n'omusajja ey'eyise KOJJA OMUGEZI ku mutimbagano.

30124626101564881277433136664845042076614656n 703x422

Omusajja ono yaweerezza Bebe Cool ekifaananyi kya Maama we nga bali ne Bebe Cool n'assaako obubaka ng'agamba nti yazudde maama wa Bebe Cool wabeera era ekiddako kumuweereza bubaka agambe mutabani we Bebe Cool yeddeko olw'okulaga obuwagizi bwalina eri NRM Oba si ekyo ekinaabatuukako ne mutabani we tebajja ku kyagala.

Obubaka buno Bebe Cool abutadde ku page ye eya face book n'ategeeza nti buno obubaka bw'amuweerezeddwa omusajja eyali omuyeekera mu ADF wabula nga mu kiseera kino yadduka mu ali mu ggwanga lya Ireland.

Bwe twogeddeko ne Bebe Cool agambye nti bino eby'okutiisatiisa maama we ow'emyaka 70 tebiggya ku muggya ku mulamwa olw'ensonga nti akimanyi bulungi nti biva mu b'oludda oluvuganya Gavumenti oluvannyuma lw'okubatuzaako akazito mu kalulu e Hoima...