TOP

Esther ne Ezekiel bakomyewo mu ggwanga

By Martin Ndijjo

Added 10th October 2019

Esther ne Ezekiel abawangudde empaka z’okulaga ekitone bakomyewo mu ggwanga

Juli 703x422

Esther ne Ezekiel nga bali ne Richard Kabonero omubaka wa Uganda e Tanzania

Libadde ssanyu jjereere nga abeng’aana n’emikwano gya, Esther Mutesasira ne Ezekiel Mutesasira bamusaayi muto, abawangudde empaka z’okulaga ekitone ne bawanika bendera ya Uganda babaaniriza ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe.

Esther,14, asoma S.1 ku Hana International School ne Ezekiel,11, asoma P.4 ku Hormisdallen e Kamwokya nga baana b’omusumba Steven Mutesasira n’omuyimbi Julie Mutesasira bakomyewo mu ggwanga akawungezi ka leero okuva e Kenya.

Ababiri bano abayimbira awamu be baawangudde empaka za ‘East Africa Got Talent’ ezeetabiddwamu abantu ab’ebitone eby’enjawulo okuva mu mawanga g’omubuvanjuba bwa Afrika ne basitukira mu doola 50,000 mu za Uganda obukadde 184.

Amangu ddala nga bakatuuka ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe bebaazizza Bannayuganda ababawagidde ebbanga lye bamaze nga bavuganya mu mpaka zino ne babalonda ekyabayambye okutuuka ku buwanguzi.

Bano era basuubiza okutwala mu maaso ekitone kyabwe eky’okuyimba. Nga tebanaba kudda mu ggwanga basoose kubatwala Tanzania gye basisinkanidde abamawulire okuva ku mikutu egy’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...