TOP

Babiri bawangudde empaka z'okulya

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 11th October 2019

Empaka zino zawanguddwa abavubuka babiri nga waliwo omu eyasesezza ennyo abalabi bwe yatuuse okulya amagi n’agaliirako ebikuta ate amenvu teyatawaanye kugasusa ng’alya buli n’ebikuta byakwo.

Kulya33 703x422

Abavubuka nga bavaabira ebyokulya mu mpaka z'okulya.

OLUGERO olugamba nti akafa omukkuto tekalulula, lutuukidde bulungi ku mpaka z’okulya ezaategekeddwa kansala wa Kyebando North, Henry Walakira ku lunaku lw’Ameefuga, abavubuka bwe beesowoddeyo okwetaba mu mpaka zino.

 Balonze abavubuka mu buli zooni okuli Nsooba, Katale, Central ne zooni endala nga  babadde balina okulya   ebyokulya  okuli akagaati ka mwana akaaba kamu, amagi abiri (2),  amenvu  eminwe 14 akacupa k’amazzi kamu ne soda.

 Abavubuka abasinga obwedda balya tebawummuza mumwa waubla okwatuuse okulya amenvu awo abasinga we baaviiriddemu anti gaabadde mangi.

 bakontanyi nga bavuubiika ebyokulya mu mpaka zokulya ezaabadde e yebando Abakontanyi nga bavuubiika ebyokulya mu mpaka z'okulya ezaabadde e Kyebando.

 

 Abaasobodde okunywa mu bannaabwe akendo yabadde  Ssonko Mataayo ng’ono yasoose kulya mugaati, amagi, amazzi, soda n’azzaako amenvu.  Abalala obwedda kibayitirirako  ne batanaka.

 Abamu obwedda bw ekituuka mu kunywa ebyokunywa okwabadde soda n’amazzi nga babisumulula bubi ne biyiika olwo abaabadde basala empaka okwabadde Sam Bidda Mugalu ne babasazaamu.

Wabula bangi ku baavuganyizza  ekiseera kyatuuse ne bazza bye baalidde olwo abasazi b’empaka ne babasazaamu.

Empaka zino zawanguddwa abavubuka babiri nga waliwo omu eyasesezza ennyo abalabi bwe yatuuse okulya amagi n’agaliirako ebikuta ate amenvu teyatawaanye kugasusa  ng’alya buli n’ebikuta byakwo.

 bawagizi ba atayo onko nga bamuyozaayoza oluvannyuma lwokuwangula empaka zokulya Abawagizi ba Matayo Sonko nga bamuyozaayoza oluvannyuma lw'okuwangula empaka z'okulya.

 

Kansala Walakira yategeezezza nti abavubuka bangi abali mu bitundu abalina ebitone ebitali bimu kyokka ne bafiira eyo obwavu olw’okubulwa omuntu asobola okubazuulamu ebitone ebyo.

Yagambye nti omuwanguzi bagenda kumuwa erinnya lya ssaabafensi olw’okulaga ekitone mu kulya. Empaka zino zaatandise na misinde mubunabyaalo, ssaako empaka z’okunyiiga, ne ludo nga mu byonna abantu beewangulidde ebirabo okuli kimeeme w’embuzi ne sseddume w’ente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...