TOP

Dr. Bitone anoonya mugaati

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2019

Dr. Bitone anoonya mugaati

Lop2 703x422

Omuyimbi Dennis Kawuki eyeeyita Dr. Bitone ali mu keetalo. Ennaku zino asiiba mu bantu be mu bitundu by’e Busaabala era mu biseera by’okugema kw’ekikungo abadde abayitamu ng’abakubiriza okutwala abaana okubagemesa kubanga be bakulembeze b’enkya nga tubeetaaga balamu.

Mu kiseera kye kimu abadde abajjukiza okumulabiranga ddala mu kivvulu kye yatuumye ‘‘Time yo mu Daddy Concert’’ ku Papaz Spot e Makindye nga November 8, 2019 ng’agamba nti kye kiseera naye alye ku mugaati oguwera.

Loodi ono eyateekako omuyimbi Jose Chameleone ku bunkenke olw’okuyimba mu ddoboozi lye alina ennyimba nga:

Tonefasa, Topowa, Oli mufere, Kankikole, Mukyala, Mawazo n’endala nnyingi. Ku kuyimba agattako okuwandiikira abayimbi ennyimba ng’era baakoleddeko kuliko: Julie Mutesaasira, Joy Tendo, Glydes Mirembe, Fyonna Nsubuga n’abalala.

Yagambye nti mu kivvulu kino agenda kubeera ne banywanyi ne okuli: B2C, John Blaq, Spice Diana, Mesach Ssemakula, MC Mariach n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana