TOP

Ekyana kiwuubye John Blaq n'akkiriza

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2019

OMUYIMBI John Kasadha eyeeyita John Blaq omuziki gwakuba ennaku zino teguleka byana mu ntebe. Era abamugoberera ennaku zino bagamba nti ssinga abadde asoma, yayingidde dda yunivasite ng’ate buli lwakola ebibuuzo ayitira waggulu.

Johnblaq15 703x422

John Blaq n'ekyana nga bazina

OMUYIMBI John Kasadha eyeeyita John Blaq omuziki gwakuba ennaku zino teguleka byana mu ntebe. Era abamugoberera ennaku zino bagamba nti ssinga abadde asoma, yayingidde dda yunivasite ng’ate buli lwakola ebibuuzo ayitira waggulu.

John Blaq alina ennyimba nga: ‘Tukwatagane, Do Dat, Ebintu byo, Makanika, Maama Bulamu, Tewelumya, Sweet Love kwe yagasse Aya Bass akuguse mu bintu by’omuziki anti buli gy’agenda avaayo bakkirizza nti omwana yajja.

Wadde John Blaq ayimba atontoma ebigambo, ennyimba ze zino zirimu amakulu nga n’ezisinga za mukwano era zifuukuula ebyana ne bimulumba ku siteegi ne batiguka. Alina ekivvulu kye yabaddemu akaana ne kamusoomooza kyokka yagenze okuva ku siteegi ng’ayoya busera. Kwe kugamba akaana kaamuwuubye n’akkiriza.

Musa Kavuma owa KT Events yawuliddwa ng’agamba nti omwana yakubye oluyimba lwa ‘‘Aya Bass’’ oba luyite ‘‘Ebyalagirwa’’ ne lumuwoomera n’ekyaddiridde kunoonya maneja we Norman ne bakutula ddiiru.

Kavuma ne John Blaq bategese ekivvulu kye Batuumye ‘‘ The Aya Bass Concert’’ ekigenda okubeera ku Freedom City e Namasuba nga November 29, 2019. Nga November 30, Trans Africa Jinja ate nga December 1, abeere ku Agip Motel e Mbarara. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...