TOP

Ke nfunye maneja kavuma ebyange biteredde

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2019

‘‘KE nfunye Maneja Musa Kavuma owa KT Events ebyange biteredde. Mwe ababadde balowooza nti nkyabulamu muli ku bikadde. Omuyimbi John Blaq

Johnblaqkavumaconcert 703x422

Ssendi, Kavuma, John Blaq ne Leila Ndagire.

‘‘KE nfunye Maneja Musa Kavuma owa KT Events ebyange biteredde. Mwe ababadde balowooza nti nkyabulamu muli ku bikadde.

Kye mulina okumanya nti omutegesi w’ebivvulu nga Kavuma bw’okola naye ddiiru, kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde n’ekkiriza okukuwagira ng’ate waliwo ne kkampuni endala ezikukooneramu, towakana ekyo kiba kiraga nti John Blaq munene era asobola.

John Blaq y’omu ku bayimbi abalina omukisa nga mu bbanga ery’emyaka esatu lye yaakamala mu nsiike, asambye akaggi n’awamba emitima gy’abantu ng’ate n’omuziki gwakuba sitayiro yiye yekka. Okwogera bino, John Blaq yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku New Vision e Lugogo ku Mmande.

Loodi ono  ategese ekivvulu ku Freedom City e Namasuba nga November 29, 2019. Okuyingira 10,000/-, 30,000/- ne 1,000,000/- emmeeza. Enkeera ajja kubeera ku Trans Africa e Jinja ate nga December 1, 2019 abeere ku Agip Motel e Mbarara.

Omumbejja Leila Ndagire ku lwa Bukedde Tv yagambye nti emikutu  gya Vision Group gyonna okuli ttivvi, leediyo n’olupapula bigenda kumuwagira.  Ate Eddie Ssendi omwogezi wa KT Events yagambye John Blaq ye muyimbi aliko kati era ajja kuwa abadigize essanyu. Okuva ku kkono: Eddie Ssendi, Musa Kavuma (KT Events), John Blaq ne Leila Ndagire owa Bukedde TV.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...