TOP

Okwanjula kwa Julie Angume kwengedde

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2019

Omuyimbi Julie Angume emikolo gy’okwanjula omusajja gwe yafunye gimuwuuba. Alonze abasuubuzi n’ebikonge mu Kampala okukulira enteekateeka z’emikolo.

Julieangume5nomusajja 703x422

Julie Angume ne bba

Omuyimbi Julie Angume emikolo gy’okwanjula omusajja gwe yafunye gimuwuuba. Alonze abasuubuzi n’ebikonge mu Kampala okukulira enteekateeka z’emikolo.

Angume yafiirwako bba omuyimbi Martin Angume emyaka nga mukaaga egiyise ng’era abasajja bazze bamutokota kyokka nga tabawa budde. Gye buvuddeko yavuddeyo n’ategeeza nga bwe yafunye omusajja Samuel Ssekajugo Musoke gw’asazeewo okufumbirwa.

Leero Julie lw’ateeseteese okukola ‘lonki’ z’enkiiko eziteekateeka emikolo gye. Agitadde ku Ok Hotel ku luguudo lwa Sir Apolo Kaggwa. Mu bantu abasuubirwa okukulembera enteekateeka z’emikolo  kuliko: Haji Isa Musoke, Sofie Gombya, Emirian Kayima, abayimbi n’abasuubuzi ab’amaanyi mu Kampala.

Emikolo gigenda kubeerawo nga December 12, 2019.  Gigenda kubeera mu maka g’omugenzi Ronald Ssemugga e Kiboga mu Kyankwanzi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...