TOP

Abtex ne Bajjo gabeesibye

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

ABATEGESI b’ebivvulu Abbey Musinguzi (Abtex) ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events eggandaalo lya Ssekukkulu batuuse okuliyitamu nga beemagaza. Baali babaze nti Ssekukkulu ya 2019 wenneetuukira ng’omulamuzi amaze okusalawo eggoye ku musango gwe baawawaabira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola ne Ssaabawolereza wa Gavumenti ku by’okuyimiriza ebivvulu byabwe ebya ‘Kyalenga Concert’.

Abtexnebajjokkootinovember10 703x422

Abtex ne Bajjo ku kkooti

ABATEGESI b’ebivvulu Abbey Musinguzi (Abtex) ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events eggandaalo lya Ssekukkulu batuuse okuliyitamu nga beemagaza.

Baali babaze nti Ssekukkulu ya 2019 wenneetuukira ng’omulamuzi amaze okusalawo eggoye ku musango gwe baawawaabira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola ne Ssaabawolereza wa Gavumenti ku by’okuyimiriza ebivvulu byabwe ebya ‘Kyalenga Concert’. Byali bitegekedde mu biseera bya Pasiika 2019.

Ku Lwokuna omusango guno gwatandise okuwulirwa mu maaso g’omulamuzi Lydia Mugambe Ssaali  owa  kkooti  ewozesa   emisango  gy’engassi  ku Twed Tower. Bano baali bategese ebivvulu ebyalimu omuyimbi Bobi Wine (omubaka wa Kyadondo East) poliisi n’ebiyimiriza ng’egamba nti terina bukuumi bumala mu bivvulu bino ekyabafiiriza omusimbi.

Baddukira mu kkooti nga balowooza nti omulamuzi agenda kugusala mangu baddemu okutegeka ebivvulu byabwe. Kyokka omulamuzi yabasabye baweeyo okwewoozaako kwabwe mu buwandiike nga December 13, 2019 oluvannyuma alyoke awe ensala ye. Bajjo ne Abtex bayambibwako  Erias Lukwago ne Shamim Malende. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...