TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Stecia awadde Julie obukwakkulizo ku ssente z’okwanjula

Stecia awadde Julie obukwakkulizo ku ssente z’okwanjula

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2019

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo nga December 12, 2019 e Kiboga mu Kyankwanzi.

Linda 703x422

Julie Ssemugga ng’ali ne Stecia Mayanja (ku kkono). Julie Ssemugga ng’ali ne mikwano gye. Ku ddyo ye metulooni we Janat Kirungi.

Mu lukiiko oluteekateeka emikolo gino olwatudde ku Hotel Ok ku luguudo lwa sir Apollo Kaggwa mu Kampala olwomulundi ogwokubiri, omuyimbi Stecia Mayanja yeeyamye okuwaayo obukadde bubiri kyokka n’asuubiza okuzongerako ssinga ebivvulu bya December binaamutambulira bulungi.

‘Siri bulungi ennaku zino naye Julie mukwano gwange nnyo tulina bingi bye tuyiseemu nja kusooka muweeyo obukadde bubiri naye mu maaso awo nja kwongerako,’ Hajati Stecia Mayanja bwe yategeezezza.

Ate omuyimbi Amelia Nambala yategeezezza olukiiko olwakubiriziddwa omwogezi w’oku mikolo Haji Isa Musoke nti ye buli lutuula wakuleetanga emitwalo 50 era yakutte mu nsawo n’azisasula nga n’olukiiko olwasooka yakola ekintu kye kimu.

Wabula Stecia yeebazizza Julie okusalawo n’afuna omuntu gw’asazeewo okulaga abantu n’agamba nti aggyewo ebigambo bingi ebibadde biyitingana wano ne wali.

Julie yafi irwa bba Martin Angume emyaka mukaaga egiyise era ng’ekiseera kino abadde talina gwawaana.

Ennaku zino bwomuyita Julie ng’ayongerako nti ‘mukyala Ssekajugo omu bwati’ anti kati yeesunga kwanjula Musoke Ssekajugo eyamutwala omutima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.