TOP

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss World

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2019

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka za nnalulungi w’ensi yonna ez’akamalirizo sinnakindi okusitukira mu ngule y’omwaka guno.

Fun 703x422

Ayolesezza omutindo ogwa waggulu mu lukontana olwa ‘Head to Head Challenge’ ogumu ku mitendera egitunuulirwa ennyo nga balonda omuwanguzi w’empaka zino.

Abawala 130 okuva mu nsi ez’enjawulo be bavuganya mu mpaka z’omwaka guno.

Ku Mmande baayawuddwamu ebibinja 20 mwe baavuganyiza mu lukontana luno era Nakakande ye yakulembedde banne mu kibinja ekya 18 ne yeesogga olukontana oluddako. Kati alindiridde kuttunka ne nnalulungi wa Mexico.

Ssinga amuwangula yeesogga empaka ez’akamalirizo ezigenda okubeerawo ku Lwomukaaga nga December 14, mu kibuga London.

Mu lukontana luno buli muntu yaweereddwa omukisa okunnyonnyola ky’agenda okukola ssinga awangula engule ya ‘‘Miss World’’.

Oyogera pulojekiti yo, kyekola, engeri gy’eyambamu abantu ne w’otuuse mu kubayamba. Nakakande yabanjulidde pulojekiti y’okusomesa abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka.

Omuwanguzi era yawangula engule y’obulungi obw’ensonga n’afuna pawundi emitwalo 20 eza Uganda 972,453,831.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.