TOP

Mwogere bitono ono omwana si muto - Mbidde

By Musasi wa Bukedde

Added 18th December 2019

OMUBAKA Mukasa Mbidde ayanukudde abamuyeeya okuwasa omuwala omuto abamu obwedda gwe bayita bbebi n’abagamba nti; gwe muyita omwana omuto muzira wamaanyi.

Fini 703x422

‘‘Okumanya muzira, abasajja abakulu tetuwasa nga tetutegedde kigenda mu maaso era nze namaze kulaba mmwe kye mutalaba’’. Ky’ova olaba ng’omwana ono yamusalidde n’ensalo n’ayingira e Rwanda ennaku zino enzibu ennyo ne bamuzaala mu bakadde ku wiikendi.

Mbidde yagambye nti wadde ensalo nsibe, laavu yamusensedde ng’eno bwajjukira n’ebyobuzira ebirala ebiri mu mwana oyo bwatyo n’awaguza n’alumba. Yategeezezza nti omwana ono Fiona si muto nnyo ng’abamulaba bwe balowooza kubanga alina emyaka 23 wadde ye mukulu.

Mbidde yeewaanye nti ye tawasaawasa engeri gyalwawo nga yeetegereza kyokka waasimbye amakanda tetera kumala gavaawo.

Wano we yategeerezza nti bwe yawasa Susan Namaganda eyali omubaka omukyala owa Bukomansimbi, bwe yafiira mu kabenje mu 2015 ab’ekika okugamba nti bamuwaddemu mutoowe, Veronica Nannyondo baali tebategeeza bya bufumbo.

Baali babala bya Nannyondo kuvuganya mu byabufuzi nga Namaganda bwe yakola era tebalabaganangako mu bya mukwano.

Mbidde mubaka wa Palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....