TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Halimah Namakula amenye Likodi eyokkola birthday n'ayogera emyaka gye emituufu

Halimah Namakula amenye Likodi eyokkola birthday n'ayogera emyaka gye emituufu

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2020

Halimah Namakula amenye Likodi eyokkola birthday n'ayogera emyaka gye emituufu

Han11 703x422

AMIZE ppini n’atukuba akavvulu k’emyaka, Mummy Halima Namakula weebale kukula n’okwevaamu ng’omukyala n’oyogera amazima.’ Ebyo bye bimu ku bigambo abamu ku bagenyi ng’abasinga bayimbi ne bannakatemba ba Ebinies bye baasoose okwogera ku muyimbi Halima Namakula ku kabaga ke ng’ajaguza okuweza emyaka 60.

Kaabadde Kansanga ku Lwokusatu okutandika essaawa 2:00 ez’ekiro ne kakoma ku ssaawa 8:00 ogw’ekiro nga buli muyimbi amwogerako ate bw’amala n’amuyimbira ekyatwalirizza obudde.

Baabadde bangi na ddala omugigi omuto okuviira ddala ku bawala be, Racheal K (owookubiri ku ddyo) ne Rema Namakula (owookuna ku ddyo)gwe yeenyumirizzaamu obutamuswaza ng’alaga omusajja Dr. Hamza Sebunya.

Abalala Faridah Ndausi, Hanson Baliruno, Geosteady (ku kkono), Nina Roze, Ameria Nambala, Victor Kamenyo, Lydia Jazmine (asooka ku ddyo), Fille, B2C, Weasel ne Pallaso nga ne maama waabwe Prossy Mayanja yabaddewo.

Abalala abeebazizza Halima olw’okuyita mu mikono gye ye Joel Isabirye gwe yawa omulimu bwe yatandika leediyo ya Beat, A Pass, bannakatemba ba Ebonies abaakulembeddwa Dr. Bbosa. Halima yazannyirako mu Ebonies mu muzannyo gwa That’s life mwattu bwe yali yaakakomawo okuva mu Amerika.

Y’omu ku baasooka okutandika zi situdiyo ez’amaanyi nga yakola eya No End Entertainment omwakolebwa ennyimba nga Dipo Naziggala olwa Paul Kafeero, Kiki ye onvuma olwa Mariam Ndagire, Bampasudde olwa Fiina Mugerwa, ennyimba za Grace Nakimera n’endala.

Halima yakubirizza abayimbi obuteewulira kubanga abantu be beewulirirako ate be bababeezaawo. Yawunzise agamba nti ekimuwangaazizza ng’alabika bulungi buteewa situleesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Tup1 220x290

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano...

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano

Mak1 220x290

Suzan Makula asomedde Bugingo plan...

Suzan Makula asomedde Bugingo plan

Top4 220x290

Teddy alabudde Bugingo

Teddy alabudde Bugingo

Ssengalogo 220x290

Ageemugga bagaggya wa?

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera.