TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Ssente zitabudde Bad Black ne munne Mercy: Meddie abingiddemu okubatabaganya

Ssente zitabudde Bad Black ne munne Mercy: Meddie abingiddemu okubatabaganya

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2020

BAD Black ensonyi azifudde busungu. Atabukidde omuwala mukwano gwe eyamuwoze ssente, amulangidde n’okwasa ebyama abiyingizzaamu n’abasajja.

Meddie 703x422

Black (Shanitah Namuyimbwa) okwefuula kiddiridde Mercy Mika (ku kkono) omu ku bawala abamanyiddwa okulya obulamu mu Kampala okugenda ku mikitu gya Social Media n’amwasanguza nga bw’agaanyi okumusasula ssente emitwalo 56 gye yamuwoze.

Mercy agamba nti, Black yamukubira essimu mu kiro ekyakeesa Ssande ng’ava okucakala n’amutegeeza ng’omwana we bw’ali omulwadde era yeetaaga ssente ate ku kyuma kya bbanka ekya ‘ATM’ gy’abadde addukidde kigaanye kaadi ye wano kwe kusooka n’amusaba amuwoole emitwalo 20.

Nga yaakamala okuzisindika, agamba nti Black yaddamu n’amusaba amwongere ssente endala kubanga talaba muntu mulala ayinza kumuyamba era Mercy n’amwongere emitwalo 36 n’amusuubiza okuzimuddiza ku Mmande.

Ku ssaawa nga 4:00 ez’oku makya ku Mmande, Mercy yakubira Black essimu ng’amujjukiza ssente ze kyokka ono n’atandika okumuwanvuya ng’enjogera y’ennaku zino.

Black yalabye Mercy asusse okumubanja kwe ku ‘mubulokinga’ ekyasaanudde Mercy n’asalawo okumuteeka ku mikutu gya ‘Social Media’ ng’alowooza nti osanga ayinza okukwatibwa ensonyi n’amusasula.

BLACK ALAYIDDE OBUTAMUSASULA

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olwabaluseewo ku ‘social media’ Black yalayidde obutasasula Mercy ng’agamba nti naye yamuyamba era yamuwa ssente nnyingi mu biseera we yakyakira ennyo.

“Kale oyo Mercy nze mwewunya teyandibadde ye kuvaayo n’answaza mu bantu.

Mu biseera nga tebanaansiba olw’okubba ssente z’Omuzungu obuwumbi 11, oyo y’omu ku bawala be naayambanga n’okuwa ssente nga n’olumu yankwatira ensawo naye ebyo tabijjukira ali ku buno obusente alaba bumuluma nnyo tamanyi nti nnina n’abamanja obukadde n’obukadde.

Kale sigenda musasula aggye ku ze nnamuwanga oba sikyo akole ky’agala.”

Black bwe yagambye, Kyokka ne Mercy obwedda awera nti “nze siri muvumi nga ye naye ndi mukubi ate naye akimanyi. Nze ssente sifuna za bwereere nzikolera era nzaagala”

BABIYINGIZZAAMU ABASAJJA

Wakati mu kugugulana, Black yagambye nti obusungu Mercy bw’amulinako n’embeera gy’amutaddeko si ya ssente z’amubanja wabula amulinako obuggya olw’abasajja be b’azze baagalako bombi abassukka mu bana okuli Meddie Ssentongo (mu katono), Omunigeria n’abalala.

Kuno yagasseeko okumulangira nga bwe bakolako omulimu gwe gumu era nti yamuyamba okumuggya mu mpewo y’ekiro. Bino Mercy yabiwakanyizza ng’agamba Black abyogera kubuuzaabuza na kumugya ku mulamwa.

MEDDIE SSENTONGO ABIYINGIDDEMU

Ku Lwokuna Meddie Ssentongo yalabye embeera eyongera kusajjuka kwe kuyingirawo abatabaganye nga mukwano gwabwe.

Yasoose kubakubira ssimu n’abasaba bakwatagane ensonga bazimale kikazi kikulu wabula yalabye bigaanyei kwe kusindikira Mercy ssente obukadde 2 n’amusaba abiveeko Mercy kye yakkirizza.

Kyokka ye Bad Black yasigadde awanda muliro n’alangira Meddie nga bwatannaba kumusabako buyambi era nti ssente z’awadde Mercy kirabika azimuwadde nga muninkini we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi