TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko ku mivuyo gya gawuni e Makerere

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko ku mivuyo gya gawuni e Makerere

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2020

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko ku mivuyo gya gawuni e Makerere

Sit14 703x422

OMUMYUKA w’akulira yunivasite y’e Makerere, Polof. Barnabas Nawangwe ataddewo akakiiko okunoonyereza ku mivuyo egy’etobese mu bya gawuni z’abayizi.

Bino yabyogedde ayogerako eri abayizi n’abazadde abatikkiddwa mu bwayinginiya, amateeka n’abaakuguse mu katemba ku Lwokutaano olwafundikidde amatikkira g’omwaka guno. Yagambye nti akakiiko kano ayagala kanoonyereze kazuule wa obuzibu we bwavudde ku gawuni okuba entono ng’ate ensimbi zonna zaasasulwa.

Omukolo gw’okutikkira abayizi gwatandise ku Lwakubiri kyokka emikolo gyatuuse okutandika nga ku gawuni ezikunukkiriza mu 13,500 ezaabadde zirina okutungibwa nga balinako 7,000 zokka ate nga n’obukoofi ira bw’oku mutwe tebumala.

Yeetondedde abayizi n’abazadde wamu ne ggwanga lyonna olw’ekizibu ekyo ekyabaddewo ne yeeyama obutaddamu kubaawo mu byafaayo bye Makerere.

Nawangwe yategeezezza nti yunivasite y’e Makerere ekulaakulana buli olukya olwa pulojekiti ez’amaanyi ezikoleddwa abayizi omuli Kiira Motors ne Banana Products ze yagambye nti zaasibuka Makerere era bazeenyumirizaamu nnyo ng’ebibala n’entuuyo zaabwe.

Yagambye nti Makerere ekyali yamaanyi mu kisaawe ky’ebyenjigiriza nga mu Africa ekwata kifo kyakubiri mu kunoonyereza ate mu nsi yonna ekwata ekifo kisooka mu kukolagana ne yunivasite ezisinga amaanyi.

Yategeezezza nti Makerere egenda kwongera amaanyi mu kuwa abayizi abawala omukisa ng’eyita mu bitiongole nga Master Card Foundation n’ebirala okwongera okuwa abawala abava mu famire z’abankuseere abagezi omukisa okusoma basobole okugenda mu maaso.

Cansala wa yunivasite, Polof. Ezra Suruma yategeezezza abayizi nti bafunye enjawulo nnene nnyo okuva we baayingirira Makerere kyokka n’abalabula nti bayingidde ensiike ey’okukola ejjudde ebisoomooza.

Yabakuutidde okufuba okulaba nga buli webali balina omuntu gwe basobola okugasa oba okutuusaako obuyambi era bafube nnyo okulaba nga baleeta enjawulo ennungi GGAAYI ono yajja mu kibuga buli we balaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.