TOP

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2020

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu

Lip2 703x422

ALLEN Nazziwa ebintu bimwonoonekedde. Batuuze banne ne nnannyini mayumba kwabadde asula bamuvuddemu ne bamugoba ku kyalo.

Entabwe evudde ku bigambibwa nti alina empisa ensiiwuufu n’okusaasaanya empitambi mu myala gy’omu kitundu.

Nazziwa bwe yalabye ng’abatuuze bamutabukidde n’abamu ne bamuyisaamu empi yaddukidde ku poliisi y’oku Kaleerwe abagguleko omusango gw’okumukuba. Kino kyawalirizza Abraham Bbaale akwataganya poliisi n’omuntu waabulijjo okugenda okulaba ogubadde.

Abatuuze baamulumirizza okumokkola ng’atwaliddemu n’aba LC. Owa poliisi yabadde akyawooyawooya abatuuze naye Nazziwa n’amuwemula n’asoberwa ng’awoza nti teri kigambo kiva mu kamwa kibi.

Eky’okweyambira mu kiyigo yasoose kukyegaana ate oluvannyuma n’abasaba omusango baguteeke ku nnannyini nnyumba ataateekako kaabuyonjo. Yalabye bamugobera ddala nga tewali amuwolereza kwe kutabukira buli eyamwesimbyemu ng’awoza nti ajja kufa n’omuntu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.