TOP

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite

By Joseph Mutebi

Added 20th January 2020

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma lwa bba Dr. Hamzah Sebunya okutikkirwa diguli y’obusawo.

Remagrad2 703x422

Dr. Sebunya ne Namakula abagenyi baababuuzizza bafukamidde.

Bya JOSEPH MUTEBI

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma lwa bba Dr. Hamzah Sebunya okutikkirwa diguli y’obusawo.

“Mpulira essanyu nga mukyala Dr Sebunya okubeerawo ng’ajaguza okufuna ddiguli
y’obwadokita kubanga ekikwata ku Hamzah bweriba ssanyu tusanyuka ffenna, bwe bibeera bizibu tunyolwa ffembi era noolwekyo nze nange ng’omukyala nsazeewo omwaka guno nzireyo e Kyambogo mmalirize ddiguli yange,” Rema bwe yategeezezza.

 ema ne amza nga bali wamu nabayizi abalala mikwano gya amza bwe baasomye Rema ne Hamza nga bali wamu n'abayizi abalala mikwano gya Hamza bwe baasomye.

 Bino Rema yabyogeredde ku kabaga ka bba Dr Sebunya ke yategekedde ku Mestil Hotel ku bitaala by’e Nsambya ku Lwokutaano nga keetabiddwaako abagagga b’omu Kampala okwabadde ssentebe waabwe Godfrey Kirumira, Hajji Hamis Kiggundu, Teopisita Nabbaale, Freeman Kiyimba n’abalala okwabadde badokita okuva e Mulago ne Sheikh Nuhu Muzaata.

Rema yeebazizza maama wa Hamzah, Hajjati Hanifah Kibirige okumuzaalira olulenzi olulungi olumanyi omukwano ogwa nnamaddala era n’ategeeza ababoogerera
nti tebalina kye bajja kukyusa okuggyako okunuuna ku vvu.

 ema ngakuba r ebunya oluuso Rema ng’akuba Dr. Sebunya oluuso.

 Kirumira yawadde Dr. Sebunya amagezi nti okusoma kulungi naye abadde amusaba
ne banne abatikkiddwa nti bwe babeera n’obusobozi bafeeyo nnyo okwetandikirawo emirimu ng’amalwaliro kubanga mu Uganda gakyali matono basobole okwongera okukendeeza ku bbula ly’emirimu.

 innie abiriizi wakati ema amakula gye yakolera okukyala kwe ne mikwano gye nga bali ku kabaga kamatikkira Winnie Mabiriizi (wakati) Rema Namakula gye yakolera okukyala kwe ne mikwano gye nga bali ku kabaga k’amatikkira.

 Dr Sebunya yagambye nti naye abadde akirowoozaako era engeri gy’amaze ddiguli ye ey’okutabula eddagala n’okulongoosa kati mu biseera bitono agenda kutandikawo
eddwaaliro lye ng’omuntu n’agamba nti ekirungi Katonda yamuwa omukono oguwonya abantu era basiima.

 amza ngagabula irumira ne mukyala we uzan wamu ne ajji amis iggundu ku ddyo Hamza ng’agabula Kirumira ne mukyala we Suzan wamu ne Hajji Hamis Kiggundu (ku ddyo).

 


Shiekh Muzaata yawadde abagagga amagezi okulyanga ku ssente zaabwe nga bakyali balamu kubanga beekuumira nnyo mu mbeera y’okwelyako enjawulo ate bwe bafa abaana baabwe ne batunda ebintu byabwe byonna ne biggwaawo.

v

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana