TOP

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th January 2020

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Afrigo 703x422

Ku luno omwaka 2020 agutandikidde mu ggiya bwasazeewo okwetegekera konsati ye.

Lutalo ng’ali ne maneja we Ivan Lukwago abaasangiddwa ku situdiyo ya  Lutalo e Kabuusu ng’ali mu kutendekebwa baategeezezza nti ekivvulu kino kye batuumye, ‘‘David Lutalo Live in Tugende Concert’’ bakitadde ku Hotel Africana nga January 31, 2020.

Okuyingira 20,000/-, 50,000/- n’emmeeza 3,000,000/-. Enkeera bagenda kubeera ku Colline Hotel e  Mukono ate nga February 2, bagende mu kisaawe e Luweero.

Lutalo yategeezezza nti ekivvulu kino baakiggye mu linnya ly’oluyimba lwe ‘‘Tugende’’ .

Mu luyimba luno Lutalo abeera alaajanira omuwala gwe yali ayagala n’amuddukako kyokka ne baddamu ne basisinkana  n’amusaba batandikire we baakoma.

Lutalo yamanyika mu 2007 bwe yakuba oluyimba lwa Kapapaala olwamutunda mu bantu era azze alinnya okutuusa kati lwatuuse ku ntikko.

Ku Valentayini ali ku Freedom City e Namasuba. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.