TOP

Enjawulo etabudde Aganaga ne Chris Johnz

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

NGA tegunnawera mwaka ng’abayimbi Aganaga ne Chris Johnz batadde emikono ku ndagaano ey’okukolera awamu, baawukanye nga baabigwo ng’eno bwe beerangira ebisongovu.

Unit8 703x422

Entabwe yavudde ku Chris Johnz abamu gwe bamanyi nga Luweero Sojah okulumiriza Kalifah Aganaga abadde akola nga maneja we okumukuba enjawulo ku ssente ze bamusasula okuyimba.

Mu kiwandiiko kye yafulumizza ng’asazaamu endagaano gye yakola  n’aba Bad Character ekibiina kya Aganaga,  Chris Johnz agamba nti Kalifah alemereddwa  okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe era takyasobola kumugumiikiriza kubanga amaze ebbanga ng’amubba.

“Oyo Kalifah ssente zange abadde azikwatamu. Ab’ebivvulu abampangisa basasula ssente ndala kyokka eno ayanjula ndala kyokka ku ntono ezo z’ayanjudde kw’ayagala okuggya omugabo gwe nga maneja ne weesanga nga kumpi nyimbidde bwereere.

Kyokka Khalifah yagambye nti ekitabula Chris Johnz butaba na waaka, okuyimba akwesibako bwesibi era agezezzaako okumufubako ne bigaana kwe kumuta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam