TOP

Rema nze Dokita Love

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2020

‘‘KAANA ggwe nkwagala nnyo, ndi faani wo mu myuziki era nafuna omuntu gwe nali nnoonya. Kati mmwe abali eyo nga mulina abantu be mwagala n’ababaagala, mujje ku Hotel Africana nga February 14, 2020 (valentayini) twerage kye bayita laavu’’.

Remanedokita 703x422

Rema Namakula ne Dr. Love

‘‘KAANA ggwe nkwagala nnyo, ndi faani wo mu myuziki era nafuna omuntu gwe nali nnoonya. Kati mmwe abali eyo nga mulina abantu be mwagala n’ababaagala, mujje ku Hotel Africana nga February 14, 2020 (valentayini) twerage kye bayita laavu’’.

Dr. Hamza Ssebunya bwe yawaanye mwana munne Rema Namakula. Baabadde ku kabaga ke baamutegekedde ku Mestil Hotel nga bamukulisa okufuna diguli mu kutabula eddagala.

Omanyi Rema Namakula ategese ebbinu ly’abaagalana ku Hotel Africana era agavaayo gagamba nti olunaku lwonna baakulumala eno nga balya bulamu olwo olweggulo akubire abawagizi be omuziki.

Ekivvulu kino kitegekeddwa KT Events ne kiwagirwa Vision Group efulumya ne Bukedde. Ate wiiki ewedde bwe yabadde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku New Vision, Rema yasisinkanye abakozi ab’enjawulo omwabadde ne Hillary Bainemigisha amanyiddwa nga Dr. Love.

Beewadde haaga nga Dr. Love alinga agamba Rema nti nze mpandiika emboozi za laavu mu New Vision ate Rema ng’alinga amugamba nti nze nkuba omuziki gwa laavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...