TOP

Ababadde basekerera Julie ku bya bba abatemye akakule

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2020

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Siri 703x422

Bwatyo omuyimbi Julie Heart Beat Ssemuga bwe yatabukidde abantu ababadde bamuyeeya okwanjula ekifaananyi oluvannyuma lwa bba omupya Sam Ssekajuko Musoke obutalabikako ku mukolo gw’okwanjula ogwaliwo mu December.

Musoke yatuukirizza obuvunaanyizibwa bwe bwe yagenze e Kiboga ne baddamu omukolo gw’okumwanjula mu butongole.

Wabula ku mulundi guno omukolo gwakoleddwa nga gwa kyama era gwetabiddwaako abantu ba lubatu nga baagukoledde munda mu nnyumba ng’okwanjula okutuufu okw’ennono bwe kubeera.

Ng’omukolo guwedde Julie yagambye Ssekajugo nga bw’abadde mu bulumi olw’ebigambo by’abantu ebibadde bimumazeeko emirembe.

“Mwami wange weebale kujja n’onzigyako ebigambo ebibadde byogerwa kubanga bibadde bingi ate nga bimpisa bubi lwa kusirika bagamba asirise teyejjuza osanga mu budde buno nandibadde mu ntalo n’abantu.”

Ssekajugo yamukkakkanyiza bwe yamugambye okwesonyiwa aboogera n’amusuubiza okumwagala obulamu bwe bwonna n’okumukuba embaga mu December w’omwaka guno.

Kuno yagasseeko okumusaba amuzaalireyo abalongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’